Acts 19:4-6

4 aAwo Pawulo n’abagamba nti, “Yokaana yabatiza okubatiza okw’okwenenya eri abantu ng’agamba nti agenda okujja oluvannyuma lwe bamukkirize. Kino kitegeeza nti ye Yesu.” 5Bwe baawulira ebyo, ne babatizibwa mu linnya lya Mukama waffe Yesu. 6 bPawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi.
Copyright information for LugEEEE